John 6:5-9

5 aYesu bwe yayimusa amaaso n’alaba ekibiina ky’abantu ekinene, nga bajja gy’ali, n’agamba Firipo nti, “Tunaagula wa emmere okuliisa abantu abo bonna?” 6Yayogera atyo kugezesa Firipo, kubanga Yesu yali amanyi ky’agenda okukola.

7Firipo n’amuddamu nti, “Emmere egula eddinaali ebikumi ebibiri teesobole na kubabuna, buli omu okulyako akatono.”

8 bAwo omu ku bayigirizwa be, Andereya muganda wa Simooni Peetero, n’amugamba nti, 9 c“Wano waliwo omulenzi alina emigaati etaano egya sayiri, n’ebyennyanja bibiri. Naye bino binaagasa ki abantu abangi bwe bati?”

Copyright information for LugEEEE